Book of Common Prayer
148 Mutendereze Mukama!
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 (A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 (B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 (C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 (D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 (E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 (F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 (G)mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
150 (A)Mutendereze Mukama!
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
2 (B)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
3 (C)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
4 (D)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
5 (E)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
6 (F)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!
Mutendereze Mukama.
Obwesige bw’oyo atya Katonda.
91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
2 (B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
3 (C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
ne kawumpuli azikiriza.
4 (D)Alikubikka n’ebyoya bye,
era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
5 (E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
wadde akasaale akalasibwa emisana;
6 newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
7 Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,
n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,
naye olumbe terulikutuukako.
8 (F)Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;
n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.
9 Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (G)tewali kabi kalikutuukako,
so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (H)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
bakukuume mu makubo go gonna.
12 (I)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (J)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.
14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (K)Anankowoolanga ne muyitabanga;
nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (L)Ndimuwangaaza n’asanyuka
era ndimulaga obulokozi bwange.”
Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.
92 (M)Kirungi okwebazanga Mukama,
n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
2 (N)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
3 (O)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
n’endere awamu n’entongooli.
4 (P)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
5 (Q)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
6 (R)Omuntu atalina magezi tamanyi;
n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
7 newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!
8 Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.
9 (S)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
abalabe bo balizikirira,
abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (T)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
n’onfukako amafuta amalungi.
11 (U)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.
12 (V)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (W)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (X)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
baliba balamu era abagimu,
15 (Y)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.
13 (A)Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna ky’agamba:
“Abaweereza bange bajja kulya,
naye mmwe mujja kulumwa enjala,
abaweereza bange bajja kunywa,
naye mmwe mulumwe ennyonta;
abaweereza bange bajja kujaguza,
naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 (B)Abaweereza bange bajja kuyimba
olw’essanyu erinaaba mu mitima gyabwe,
naye mmwe muli ba kukaaba olw’okulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe
era mukaabe olw’okulumwa emyoyo.
15 (C)Ekikolimo kiryoke kibagwire,
Nze Mukama Katonda ow’Eggye mbatte
amannya gammwe geerabirwe,
naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 (D)Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa
anaagunoonya kuva eri Katonda Ow’amazima
buli anaalayiranga mu ggwanga
anaalayiranga Katonda ow’amazima.
Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa
gikwekebwe okuva mu maaso gange.
Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Firaderufiya
7 (A)“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Firaderufiya wandiika nti:
Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu era ow’amazima era alina ekisumuluzo kya Dawudi aggulawo ne wataba aggalawo, n’okuggalawo ne wataba aggulawo.
8 (B)Mmanyi ebikolwa byo. Laba nkugguliddewo oluggi, omuntu yenna lw’atayinza kuggala; kubanga olina amaanyi matono, okuumye ekigambo kyange n’oteegaana linnya lyange, 9 (C)laba nnyinza okuwaayo abamu ku abo ab’omu kuŋŋaaniro lya Setaani abeeyita Abayudaaya; laba ndibaleeta okuvuunama ku bigere byammwe bategeere nti mbaagala. 10 (D)Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.
11 (E)Nzija mangu! Nnyweza ky’olina waleme kubaawo akutwalako ngule yo. 12 (F)Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mw’ataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange n’erinnya lyange eriggya. 13 Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.
15 (A)Yesu bwe yategeera nti bategeka okumukwata bamufuule kabaka waabwe n’addayo yekka ku lusozi.
Yesu Atambulira ku Mazzi
16 Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ba Yesu ne baserengeta ku nnyanja 17 ne basaabala mu lyato ne boolekera Kaperunawumu. N’obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali. 18 Awo omuyaga ne gukunta mungi, ennyanja n’esiikuuka. 19 (B)Bwe baavugako kilomita nga ttaano oba mukaaga, ne balaba Yesu ng’atambulira ku mazzi, ng’asemberera eryato, ne batya. 20 (C)Yesu n’abagamba nti, “Ye Nze, temutya!” 21 Ne baagala okumuyingiza mu lyato, amangwago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
Abantu Banoonya Yesu
22 (D)Ku lunaku olwaddirira, ekibiina ky’abantu abaasigala emitala w’eri, ne balabawo eryato limu lyokka, ne bamanya ng’abayigirizwa be baawunguka bokka mu lyato. 23 (E)Kyokka amaato ne gava e Tiberiya ne gagoba awo kumpi n’ekifo abantu we baaliira emigaati Yesu gye yabawa ng’amaze okwebaza. 24 Awo abantu bwe baalaba nga Yesu taliiwo wadde abayigirizwa be, ne bakwata amaato ne bawunguka ne batuuka e Kaperunawumu nga banoonya Yesu.
25 (F)Bwe baamulaba emitala w’ennyanja ne bamubuuza nti, “Labbi, watuuse ddi wano?”
26 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 (H)Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.