Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 93

93 (A)Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.
    Mukama ayambadde ekitiibwa
    era yeesibye amaanyi.
Ensi yanywezebwa;
    teyinza kunyeenyezebwa.
(B)Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.
    Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.

(C)Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;
    ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,
    n’amazzi g’ennyanja gayira.
(D)Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;
    oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.

(E)Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,
    n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,
    ennaku zonna.

Zabbuli 96

96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
    muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
(B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
    mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
    eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

(C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
(D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
    naye Mukama ye yakola eggulu.
(E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
    amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

(F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
(G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
    muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
(H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
    Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
    Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
    Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
    ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12     (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13     (L)Kubanga Mukama ajja;
    ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
    n’abantu bonna abalamule mu mazima.

Zabbuli 148

148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(G)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.

Zabbuli 150

150 (A)Mutendereze Mukama!

Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
    mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
(B)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
    mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
(C)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
    mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
(D)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
    mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
(E)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
    mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!

(F)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

Isaaya 33:17-22

17 (A)Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,
    ne galaba ensi eyeewala.
18 (B)Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,
    “Omukungu omukulu ali ludda wa?
    Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo?
    Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”
19 (C)Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,
    abantu ab’olulimi olutamanyiddwa,
    olulimi olutategeerekeka.

20 (D)Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,
    amaaso go galiraba Yerusaalemi,
    ekifo eky’emirembe, eweema etalisimbulwa
enkondo zaayo tezirisimbulwa,
    newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.
21 (E)Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe
    era aliba ekifo eky’emigga emigazi n’ensulo engazi.
Temuliyitamu lyato
    newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.
22 (F)Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
    Mukama y’atuwa amateeka,
Mukama ye Kabaka waffe,
    y’alitulokola.

Okubikkulirwa 22:6-11

(A)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”

Okujja kwa Yesu

(B)“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”

(C)Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; (D)kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”

10 (E)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 (F)Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

Okubikkulirwa 22:18-20

18 (A)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (B)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

20 (C)Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”

Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!

Lukka 1:57-66

Okuzaalibwa kwa Yokaana

57 Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58 Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.

59 (A)Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 (B)Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”

61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”

62 (C)Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 (D)N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 64 (E)Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 65 (F)Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 66 (G)Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.