Book of Common Prayer
Oluyimba nga balinnya amadaala.
121 Nnyimusa amaaso gange eri ensozi,
okubeerwa kwange kuva wa?
2 (A)Okubeerwa kwange kuva eri Mukama,
eyakola eggulu n’ensi.
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana;
oyo akukuuma taabongootenga.
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri
taabongootenga so teyeebakenga.
5 (B)Mukama ye mukuumi wo;
Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
6 (C)emisana enjuba teekwokyenga,
wadde omwezi ekiro.
7 (D)Mukama anaakukuumanga mu buli kabi;
anaalabiriranga obulamu bwo.
8 (E)Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
2 Ebigere byaffe biyimiridde
mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba
ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4 Eyo ebika byonna gye biraga,
ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
6 (F)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
“Abo abakwagala bafune ebirungi.
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange
nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9 (G)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
123 (H)Nnyimusa amaaso gange gy’oli,
Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
2 (I)Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe;
n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we[a],
n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe,
okutuusa lw’alitusaasira.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire,
kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala,
n’okunyoomebwa ab’amalala.
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (B)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (C)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
2 (D)Nga bwe yalayirira Mukama,
ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3 ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
wadde okulinnya ku kitanda kyange.
4 Sirikkiriza tulo kunkwata
newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5 (E)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
6 (F)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
7 (G)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
8 (H)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
9 (I)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
11 (J)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (K)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
13 (L)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (M)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (N)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (O)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
14 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,
n’abo Abasabeya abawanvu
balijja
babeere abaddu bo,
bajje nga bakugoberera
nga basibiddwa mu njegere.
Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,
‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”
15 (B)Ddala oli Katonda eyeekweka,
ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.
16 (C)Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,
balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.
17 (D)Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama
n’obulokozi obutaliggwaawo.
Temuukwatibwenga nsonyi,
temuuswalenga emirembe gyonna.
18 (E)Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,
ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.
Ye yassaawo emisingi gyayo.
Teyagitonda kubeera nkalu
naye yagikola etuulwemu.
Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.
19 (F)Soogereranga mu kyama,
oba mu nsi eyeekizikiza.
Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,
‘Munoonyeze bwereere.’
Nze Mukama njogera mazima,
mbuulira ebigambo eby’ensonga.
Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa
24 (A)Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa. 25 (B)Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. 26 (C)Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. 27 (D)Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.
28 (E)Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo. 29 (F)Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.
2 (G)Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. 2 (H)Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. 3 (I)Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. 4 (J)Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. 5 (K)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
Obulamu obujjuvu mu Kristo
6 (L)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, 7 (M)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
Yesu gwe Musana gw’Ensi
12 (A)Awo Yesu n’ayongera okwogera n’ekibiina, n’agamba nti, “Nze Musana gw’ensi. Angoberera taatambulirenga mu kizikiza, wabula anaabeeranga n’omusana ogw’obulamu.”
13 (B)Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Weeyogerako naye by’oyogera bya bulimba.”
14 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Newaakubadde neeyogerako, bye njogera bituufu, kubanga mmanyi gye nava ne gye ndaga. Naye mmwe temumanyi gye nva wadde gye ndaga. 15 (D)Mmwe musala omusango ng’abantu obuntu. Nze siriiko gwe nsalira musango. 16 (E)Naye singa mbadde nsala omusango, ensala yange ya mazima, kubanga siri nzekka, naye ndi ne Kitange eyantuma. 17 (F)Amateeka gammwe gagamba nti ssinga abajulirwa babiri bakkiriziganya ku kintu, obujulirwa bwabwe buba bwa mazima. 18 (G)Kale Nze nneyogerako era n’oyo eyantuma ategeeza ebyange.”
19 (H)Awo ne bamubuuza nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n’abaddamu nti, “Nze temuntegeera ne Kitange temumutegeera. Singa muntegeera ne Kitange mwandimutegedde.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.