Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 148-150

148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(G)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.
149 (J)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(K)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(L)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(M)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(N)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(O)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(P)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.
150 (Q)Mutendereze Mukama!

Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
    mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
(R)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
    mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
(S)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
    mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
(T)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
    mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
(U)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
    mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!

(V)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

Zabbuli 114-115

114 (A)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
    abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
    Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

(B)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
    Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
    Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

(C)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
    mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
(D)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
    n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
115 (E)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
    Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.

(F)Lwaki amawanga gabuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”
(G)Katonda waffe ali mu ggulu;
    akola buli ky’ayagala.
(H)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(I)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (J)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.

12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
    Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
    ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (K)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
    Mukama anaabawanga omukisa.

14 (L)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
    mmwe n’abaana bammwe.
15 (M)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
    abawe omukisa.

16 (N)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
    naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (O)Abafu tebatendereza Mukama,
    wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (P)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!

1 Bassekabaka 8:22-40

Okusaba kwa Sulemaani okw’Okuwaayo Yeekaalu eri Mukama

22 (A)Awo Sulemaani n’ayimirira mu maaso g’ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isirayiri nga kiraba, n’ayanjuluza emikono gye eri eggulu, 23 (B)n’ayogera nti,

“Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo ey’okwagala n’okuuma n’abaddu bo abatambulira mu maaso go n’emitima gyabwe gyonna. 24 Okuumye ekisuubizo kyo eri omuddu wo Dawudi kitange; wasuubiza n’akamwa ko era okituukirizza n’omukono gwo, nga bwe kiri leero.

25 (C)“Kaakano Mukama, Katonda wa Isirayiri, otuukirize bye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, bwe wagamba nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu buli kye banaakolanga, ne batambuliranga mu maaso gange nga bw’okoze, wanaabangawo ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri mu maaso gange.’ 26 (D)Era kaakano, Ayi Katonda wa Isirayiri, ekigambo kyo kye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, okituukirize.

27 (E)“Naye ddala Katonda anaabeeranga ku nsi? Laba, eggulu n’eggulu ly’eggulu terikumala, ne yeekaalu eno toyinza kugigyamu. 28 Kaakano osseeyo omwoyo eri okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange. Owulire okukaaba n’okusaba omuddu wo kw’asaba mu maaso go leero. 29 (F)Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino. 30 (G)Owulire okwegayirira kw’omuddu wo, n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gy’obeera, era bw’otuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.

31 (H)“Omuntu bw’anaasobyanga muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, n’ajja n’alayirira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno, 32 (I)owulire okuva mu ggulu, era omukole nga bw’olaba. Osale omusango wakati wa baddu bo, era obonereze oyo omusango gwe gusinze nga bwe kimusaanidde. Olangirire nti atasobezza taliiko musango, ekyo kinaakakasa nti taliiko musango.

33 (J)“Abantu bo Isirayiri bwe banaawaangulibwanga omulabe olw’ebibi byabwe, ne bakyuka ne badda gy’oli, ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne bakwegayirira mu yeekaalu muno, 34 kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era osonyiwenga abantu bo Isirayiri olw’ebibi byabwe, era obakomyengawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.

35 (K)“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, olw’ebibi byabwe, era bwe banasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, olw’okubabonereza, 36 (L)kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era obasonyiwenga ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri. Obayigirize ekkubo etuufu ery’okutambulirangamu, era otonnyese enkuba ku nsi gye wawa abantu bo ng’omugabo gwabwe.

37 (M)“Bwe wanaabangawo enjala mu nsi, oba kawumpuli, oba okugengewala oba bukuku, oba enzige, oba omulabe ng’abazingizza mu bibuga byabwe, endwadde yonna ne bweneefaanananga etya, 38 omuntu yenna ku bantu bo bw’anaasabiranga ekintu kyonna, buli omu n’amanya endwadde ey’omu mutima gwe, era n’ayanjuluza emikono gye eri yeekaalu eno, kale owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera. 39 (N)Osonyiwenga era okolenga buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gy’abantu bonna, 40 (O)balyoke bakutyenga ennaku zonna ze banaabeeranga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.

1 Timoseewo 4:7-16

(A)Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda. (B)Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja. (C)Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala. 10 Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.

11 (D)Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga. 12 (E)Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. 13 Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja. 14 (F)Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.

15 Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. 16 Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.

Yokaana 8:47-59

47 (A)Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”

48 (B)Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”

49 Yesu n’abaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa. 50 (C)Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era y’alamula. 51 (D)Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.”

52 Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’ 53 (E)Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”

54 (F)Yesu n’addamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe, 55 (G)mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma. 56 (H)Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti nzija era ne kimusanyusa.”

57 Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”

58 (I)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.” 59 (J)Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka n’afuluma mu Yeekaalu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.