Book of Common Prayer
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2 (B)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
3 (C)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
2 (D)Nga bwe yalayirira Mukama,
ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
3 ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
wadde okulinnya ku kitanda kyange.
4 Sirikkiriza tulo kunkwata
newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
5 (E)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
6 (F)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
7 (G)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
8 (H)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
9 (I)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
11 (J)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (K)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
13 (L)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (M)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (N)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (O)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
17 (P)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (Q)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
133 (R)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
2 (S)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
3 (T)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
n’obulamu emirembe gyonna.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
134 (U)Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 (V)Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama.
Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
2 (Y)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
3 (Z)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
4 (AA)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
5 (AB)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
6 (AC)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
mu ggulu ne ku nsi;
mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
7 (AD)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
8 (AE)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
9 (AF)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (AG)Ye yakuba amawanga amangi,
n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (AH)Sikoni kabaka w’Abamoli,
ne Ogi kabaka w’e Basani
ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (AI)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
13 (AJ)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (AK)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (AL)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.
4 (A)Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona asinga obukulu ne bakabona abaamuddiriranga, wamu n’abaggazi okuggya mu yeekaalu ya Mukama ebintu byonna ebya Baali n’ebya Asera, n’eby’eggye lyonna ery’omu ggulu, n’abyokera ebweru wa Yerusaalemi mu ttale eriri mu kiwonvu kya Kiduloni, evvu n’alitwala e Beseri[a]. 5 (B)N’agoba bakabona abaasinzanga ebifaananyi abaali balondeddwa bassekabaka ba Yuda okwoterezanga obubaane mu bifo ebigulumivu mu bibuga ebya Yuda n’okwetooloola Yerusaalemi, n’abo abayoterezanga obubaane eri Baali n’enjuba n’omwezi, n’eri emunyeenye n’eri eggye lyonna ery’omu ggulu. 6 (C)N’aggya empagi ya Asera[b] mu yeekaalu ya Mukama, n’agitwala ebweru wa Yerusaalemi mu kiwonvu ekya Kiduloni, n’agyokera eyo. N’agisekulasekula n’asaasaanya evvu lyayo ku malaalo ag’abantu abaabulijjo. 7 (D)Ate era yamenyaamenya n’ennyumba ez’abaalyanga ebisiyaga ezaali mu yeekaalu ya Mukama, era eyo abakazi gye baalukiriranga Asera ebitimbibwa.
8 (E)Awo Yosiya n’aleeta bakabona bonna okuva mu bibuga bya Yuda, n’ayonoona ebifo ebigulumivu okuva e Geba okutuuka e Beeruseba, bakabona gye baayoterezanga obubaane, era n’amenyaamenya amasabo agaali okumpi ne wankaaki ow’oku Mulyango gwa Yoswa, omukulembeze ow’ekibuga, agaali ku luuyi olwa kkono olwa wankaaki ow’ekibuga. 9 (F)Newaakubadde nga bakabona bali ab’oku bifo ebigulumivu tebaweerezanga ku kyoto kya Mukama mu Yerusaalemi, balyanga emigaati egitali mizimbulukuse wamu ne bakabona bannaabwe.
10 (G)Yavvoola era n’amenyaamenya ekyoto kya Tofesi ekyali mu Kiwonvu ky’abaana ba Kinomu, obutaganya muntu yenna kuwaayo mwana we owoobulenzi newaakubadde owoobuwala ng’ekiweebwayo eri Moleki. 11 (H)Era yaggyawo n’embalaasi ezaali mu mulyango gwa yeekaalu, bassekabaka ba Yuda ze baali bawonze eri enjuba, era n’ayokya amagaali ze gaasikanga. Zaabeeranga mu luggya okuliraana n’ekisenge ekyali eky’omukungu Nasanumereki. 12 (I)Yamenyaamenya n’ebyoto bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye ku kasolya okumpi n’ekisenge ekya waggulu ekya Akazi, era n’ebyoto Manase bye yali azimbye mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. Byonna yabiggyayo, n’abimenyaamenya, enfuufu yaabyo n’agiyiwa mu kiwonvu ekya Kiduloni. 13 (J)Era kabaka n’ayonoona n’ebifo ebigulumivu ebyali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi ku luuyi olwa bukiikaddyo ku lusozi olw’okuzikirira, ebyo Sulemaani kabaka wa Isirayiri bye yazimbira bakatonda ab’omuzizo: Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Kemosi ow’Abamowaabu, ne Mirukomu ow’Abamoni. 14 (K)N’amenyaamenya empagi, n’atemaatema empagi za Asera era ebifo ebyo n’abijjuza amagumba g’abantu.
Amasabo n’Ebyoto Bimenyebwamenyebwa
15 (L)Era n’ekyoto ekyali e Beseri, n’ekifo ekigulumivu ekyaleetera Isirayiri okwonoona, Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yali azimbye, byonna Yosiya n’abimenyaamenya. N’ayokya era n’asekulasekula ekifo ekigulumivu okutuusa lwe kyafuuka enfuufu era n’ayokya n’empagi eya Asera. 16 (M)Awo Yosiya bwe yatunulatunula, n’alaba amalaalo agaali ku lusozi, n’agenda n’aggyamu amagumba g’abafu n’agokera ku kyoto n’akyonoona, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali omusajja wa Katonda kye yalangirira.
17 Awo kabaka n’abuuza nti, “Kijjukizo ki ekyo kye ndaba?” Abasajja ab’ekibuga ne bamuddamu nti, “Ago ge malaalo ag’omusajja wa Katonda eyava mu Yuda n’alangirira ebigambo ebikwata ku kyoto eky’e Beseri, by’okikoze.” 18 (N)N’abagamba nti, “Mugaleke, era temuganya muntu yenna kukwata ku magumba ge.” Awo ne batakwata ku magumba ge, wadde aga nnabbi ow’e Samaliya. 19 N’amasabo gonna agaali mu bifo ebigulumivu bassekabaka ba Yuda bye baali bazimbye mu bibuga bya Samaliya ne baleetera obusungu bwa Mukama okubuubuuka, Yosiya n’agavvoola era n’agaggyawo nga bwe yakola e Beseri. 20 (O)Yosiya n’atta bakabona bonna abaaweerezanga mu bifo ebigulumivu ku byoto byayo, era amagumba gaabwe n’agokera okwo, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.
Okukuuma Embaga ey’Okuyitako
21 (P)Awo kabaka n’alagira abantu bonna ng’agamba nti, “Mukwate Okuyitako kwa Mukama Katonda wammwe ng’ekyawandiikibwa bwe kiri mu Kitabo eky’endagaano.” 22 Okuviira ddala ku mirembe gy’abalamuzi, ne ku mirembe gya bassekabaka ba Isirayiri n’aba Yuda, tewaaliwo kukwata Mbaga ey’Okuyitako. 23 Naye mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, Embaga eyo n’ebaawo mu Yerusaalemi. 24 (Q)Ate era n’abafumu, n’aboogeza emizimu, n’ebifaananyi, n’eby’emizizo byonna ebyali mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Yosiya, n’abiwera. Ekyo yakikola okutuukiriza ebigambo eby’etteeka eryali mu kitabo Kirukiya kabona kye yazuula mu Yeekaalu ya Mukama. 25 (R)Era tewali kabaka eyasooka Yosiya wadde eyamuddirira eyamufaanana era eyakyukira Mukama n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna era n’amaanyi ge gonna, ng’agoberera Amateeka ga Musa.
Ebirabo bya Mwoyo Mutukuvu
12 (A)Abooluganda, ssaagala mmwe obutategeera ebikwata ku birabo ebya Mwoyo. 2 (B)Mumanyi nti bwe mwali Abaamawanga mwabuzibwabuzibwanga ne mutwalibwa eri ebifaananyi ebitayogera. 3 (C)Noolwekyo njagala mutegeere nti tewali muntu aba ne Mwoyo wa Katonda n’ayogera nti, “Yesu akolimirwe.” Era tewali n’omu asobola okwogera nti, “Yesu ye Mukama waffe,” wabula ku bwa Mwoyo Mutukuvu.
4 (D)Waliwo ebirabo bya ngeri nnyingi, naye Mwoyo abigaba y’omu. 5 Waliwo engeri nnyingi ez’okuweererezaamu, naye Mukama aweerezebwa y’omu. 6 (E)Waliwo okukola kwa ngeri nnyingi kyokka Katonda asobozesa bonna mu byonna bye bakola y’omu.
7 (F)Mwoyo Mutukuvu yeeragira mu buli omu olw’okugasa bonna. 8 (G)Omu Omwoyo amuwa okwogera ekigambo eky’amagezi, omulala Omwoyo oyo omu n’amuwa okuyiga n’ategeera. 9 (H)Omulala Omwoyo y’omu n’amuwa okukkiriza, n’omulala n’amuwa obuyinza okuwonyanga abalwadde. 10 (I)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula. 11 (J)Naye Omwoyo akola ebyo byonna y’omu, y’agabira buli muntu ng’Omwoyo oyo bw’ayagala.
18 (A)Bwe yali ng’akyayogera nabo omufuzi n’ajja, n’amusinza n’amugamba nti, “Omwana wange omuwala anfuddeko, naye singa ojja n’omukwatako anaalamuka.” 19 Yesu bwe yasituka n’abayigirizwa be okugenda mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, 20 (B)omukazi eyali alwadde ekikulukuto ky’omusaayi, okumala emyaka kkumi n’ebiri, n’ajja emabega we n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kye. 21 Kubanga y’agamba mu mutima gwe nti, “Ne bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.”
22 (C)Yesu n’akyuka n’alaba omukazi n’amugamba nti, “Muwala, guma omwoyo! Owonye olw’okukkiriza kwo.” Omukazi n’awonera mu kiseera ekyo.
23 (D)Awo Yesu bwe yatuuka mu maka g’omufuzi n’asanga abafuuyi b’amakondeere n’ekibiina nga kijagaladde, 24 (E)n’agamba nti, “Mufulume kubanga omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi.” Bonna ne bamusekerera nga bwe beesooza. 25 Naye abantu bwe bamala okufuluma, Yesu n’ayingira, n’akwata omukono gw’omuwala, n’agolokosa omuwala. 26 (F)Ebigambo ebyo ne bibuna mu kitundu ekyo kyonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.