Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 148-150

148 Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
    mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
(A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
    mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
    nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
(B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
    naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

(C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
    Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
(D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
    n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

(E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
    mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
(F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
    naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
(G)mmwe agasozi n’obusozi,
    emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
    ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
    abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
    abantu abakulu n’abaana abato.

13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
    kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
    ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
    era agulumizizza abatukuvu be,
    be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.
149 (J)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(K)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(L)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(M)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(N)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(O)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(P)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.
150 (Q)Mutendereze Mukama!

Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
    mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
(R)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
    mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
(S)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
    mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
(T)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
    mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
(U)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
    mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!

(V)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!

Mutendereze Mukama.

Zabbuli 114-115

114 (A)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
    abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
    Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

(B)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
    Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
    Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
    nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

(C)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
    mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
(D)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
    n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
115 (E)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
    Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.

(F)Lwaki amawanga gabuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”
(G)Katonda waffe ali mu ggulu;
    akola buli ky’ayagala.
(H)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(I)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
abakozi ababikola,
    n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.

Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (J)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
    ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.

12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
    Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
    ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (K)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
    Mukama anaabawanga omukisa.

14 (L)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
    mmwe n’abaana bammwe.
15 (M)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
    abawe omukisa.

16 (N)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
    naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (O)Abafu tebatendereza Mukama,
    wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (P)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Mutendereze Mukama!

Engero 9:1-12

Empagi z’Amagezi Omusanvu

(A)Amagezi gazimbye ennyumba yaago,
    gagizimbidde ku mpagi musanvu.
(B)Gategese ennyama yaago ne wayini[a] waago;
    gategese ekijjulo.
(C)Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere
    mu bifo ebigulumivu nti,
(D)“Buli atalina kutegeera akyameko wano!”
    Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
(E)“Mujje mulye ku mmere yange
    era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
(F)Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu,
    era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”

(G)Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa,
    n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
(H)Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye
    nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
(I)Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi,
    yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.

10 (J)“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
    era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11 (K)Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo,
    era olyongerwako emyaka.
12 Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba,
    naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”

Ebikolwa by’Abatume 8:14-25

14 (A)Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira ng’abantu mu Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana. 15 (B)Bwe baatuuka ne basabira abakkiriza bano abaggya bafune Mwoyo Mutukuvu, 16 (C)kubanga yali tannaba kubakkako, kubanga baali babatizibbwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu kyokka. 17 (D)Awo Peetero ne Yokaana ne bassa emikono gyabwe ku bakkiriza abo, ne bafuna Mwoyo Mutukuvu.

18 Simooni, Omufumu, bwe yalaba ng’abantu bafunye Mwoyo Mutukuvu olw’abatume okubassaako emikono kyokka, kyeyava atoola ensimbi aziwe abatume bamuguze obuyinza obwo. 19 N’abagamba nti, “Mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono gyange afune Mwoyo Mutukuvu!”

20 (E)Naye Peetero n’amugamba nti, “Ensimbi zo zizikirire naawe olw’okulowooza nti ekirabo kya Katonda kiyinza okugulibwa obugulibwa n’ensimbi. 21 (F)Mu nsonga eno tolinaamu mugabo kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. 22 Noolwekyo weenenye ekikolwa ekyo ekibi weegayirire Mukama, oboolyawo Katonda ayinza okukusonyiwa ebirowoozo byo ebyo ebibi. 23 Kubanga ndaba nga mu mutima gwo mujjudde obuggya, era oli muddu wa kibi.”

24 (G)Simooni n’abeegayirira nti, “Munsabire eri Mukama ebintu ebyo bye mwogedde bireme okuntuukako.”

25 (H)Awo Peetero ne Yokaana bwe baamala okubuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu, ne basitula okuddayo mu Yerusaalemi, nga bagenda babuulira Enjiri mu bibuga bingi bye baayitangamu mu Samaliya.

Lukka 10:25-28

Omusamaliya Omulungi

25 (A)Kale laba omunnyonnyozi w’amateeka n’asituka, ng’ayagala okugezesa Yesu, n’amubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”

26 Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?”

27 (B)Omunnyonnyozi w’amateeka n’addamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna, n’amagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ ”

28 (C)Yesu n’amugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bw’otyo oliba mulamu.”

Lukka 10:38-42

Yesu Akyalira Maliza ne Maliyamu

38 (A)Awo Yesu n’abayigirizwa be nga bali ku lugendo lwabwe, ne batuuka mu kabuga akamu, omukazi erinnya lye Maliza n’asembeza Yesu mu maka ge. 39 (B)Yalina muganda we erinnya lye Maliyamu. N’atuula awo wansi ku bigere bya Yesu, ng’awuliriza ebigambo Yesu bye yali ayogera. 40 (C)Naye Maliza yali yeetawula mu mirimu ng’ategekera abagenyi, n’ajja awali Yesu n’amugamba nti, “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andekedde emirimu nzekka?”

41 (D)Naye Mukama waffe n’amuddamu nti, “Maliza, Maliza, ebintu ebikutawaanya bingi, 42 (E)naye waliwo ekintu kimu kyokka ekyetaagibwa, Maliyamu alonze omugabo omulungi ogutagenda kumuggyibwako.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.