Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 131-135

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

131 (A)Ayi Mukama siri wa malala,
    so n’amaaso gange tegeegulumiza.
Siruubirira bintu binsukiridde
    newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
(B)Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza
    ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.
    Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.

(C)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama
    okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

132 Ayi Mukama jjukira Dawudi
    n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.

(D)Nga bwe yalayirira Mukama,
    ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange,
    wadde okulinnya ku kitanda kyange.
Sirikkiriza tulo kunkwata
    newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
(E)okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo;
    ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”

(F)Laba, twakiwulirako mu Efulasa,
    ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
(G)Kale tugende mu kifo kye mw’abeera,
    tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
(H)Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira;
    ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
(I)Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu,
    n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.

10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo,
    tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.

11 (J)Mukama Katonda yalayirira Dawudi
    ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako.
Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo
    gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
12 (K)Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange
    n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga,
ne batabani baabwe nabo banaatuulanga
    ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”

13 (L)Kubanga Mukama yalonda Sayuuni,
    nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
14 (M)“Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna;
    omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
15 (N)Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi,
    era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
16 (O)Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe;
    n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.

17 (P)“Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza;
    ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
18 (Q)Abalabe be ndibajjuza ensonyi,
    naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

133 (R)Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa,
    abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.

(S)Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni
    ne gakulukutira mu kirevu;
gakulukutira mu kirevu kya Alooni,
    ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
(T)Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni,
    ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni;
kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa
    n’obulamu emirembe gyonna.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

134 (U)Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,
    abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
(V)Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,
    mutendereze Mukama.

(W)Mukama eyakola eggulu n’ensi
    akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.
135 (X)Mutendereze Mukama.

Mutendereze erinnya lya Mukama.
    Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
(Y)mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
    mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.

(Z)Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi;
    mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
(AA)Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe;
    ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.

(AB)Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa,
    era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
(AC)Mukama kyonna ky’asiima ky’akola,
    mu ggulu ne ku nsi;
    mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
(AD)Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi;
    atonnyesa enkuba erimu okumyansa,
    n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.

(AE)Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri;
    ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
(AF)Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri,
    eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
10 (AG)Ye yakuba amawanga amangi,
    n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
11 (AH)Sikoni kabaka w’Abamoli,
    ne Ogi kabaka w’e Basani
    ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
12 (AI)Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika,
    okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.

13 (AJ)Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera,
    era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
14 (AK)Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango,
    era alisaasira abaweereza be.
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza,
    ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
16 birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba;
17 birina amatu naye tebiwulira;
    so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18 Ababikola balibifaanana;
    na buli abyesiga alibifaanana.

19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama;
    mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama;
    mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
21 (AL)Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe;
    yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.

Ezeekyeri 37:21-28

21 (A)obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndiggya Abayisirayiri mu mawanga gye baagenda. Ndibakuŋŋaanya okuva wonna, ne mbakomyawo mu nsi yaabwe. 22 (B)Ndibafuula eggwanga limu mu nsi, ku nsozi za Isirayiri. Balifugibwa kabaka omu, tebaliddayo kubeera mawanga abiri, wadde okwawulibwa mu bwakabaka obubiri. 23 (C)Tebaliddayo kweyonoonyesa ne bakatonda abalala, ebintu ebikole obukozi n’emikono eby’ekivve, wadde okweyonoonyesa mu bibi byabwe. Ndibawonya okuva mu bifo byonna gye beeyonoonyesa, ndibafuula abalongoofu, muliba bantu bange, nange ndiba Katonda wammwe. 

24 (D)“ ‘Omuweereza wange Dawudi alibeera kabaka waabwe, era bonna baliba n’omusumba omu. Baligoberera amateeka gange, babeere beegendereza okukwata ebiragiro byange. 25 (E)Balibeera mu nsi gye nawa omuweereza wange Yakobo, ensi bajjajjammwe mwe baabeeranga. Bo n’abaana baabwe, balibeera omwo ennaku zonna, era Dawudi omuweereza wange alibeera mulangira waabwe emirembe gyonna. 26 (F)Ndikola endagaano yange ebawa emirembe, eriba ndagaano ey’olubeerera. Ndibanyweza ne mbaaza, era nditeeka ekifo kyange eky’okubeeramu wakati mu bo emirembe gyonna. 27 (G)Ekifo kyange eky’okubeeramu kinaabeeranga mu bo. Nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange. 28 (H)Amawanga galimanya nga nze Mukama Katonda, nze ntukuza Isirayiri; ekifo kyange eky’okubeeramu kiri mu bo emirembe gyonna.’ ”

1 Yokaana 2:18-29

Omulabe wa Kristo

18 (A)Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ng’Omulabe wa Kristo bw’agenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ng’ekiseera ekisembayo kituuse. 19 (B)Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si b’ewaffe.

20 (C)Kyokka mmwe mwafukibwako amafuta okuva eri Omutukuvu, era mumanyi byonna. 21 (D)Kyenva mbawandiikira, si lwa kubanga temumanyi mazima, naye lwa kubanga mugategeera era mumanyi okwawula eby’obulimba n’eby’amazima. 22 (E)Omulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana. 23 (F)Kubanga buli atakkiriza Mwana era ne Kitaffe tamukkiriza. Buli ayatula Omwana aba alina ne Kitaffe.

24 (G)Ekituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe. 25 Na kuno kwe kusuubiza kwe yatusuubiza: obulamu obutaggwaawo.

26 (H)Mbawandiikidde bino olw’okubanga waliwo abo ababalimbalimba. 27 (I)Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.

28 (J)Kaakano, abaana abaagalwa, munywerere mu Kristo, bw’alirabika tulyoke tube bagumu abatalikwatibwa nsonyi ku lunaku lw’aliddirako.

29 (K)Nga bwe mumanyi nti Mukama mutuukirivu, kirungi mutegeere nti oyo akola eby’obutuukirivu ye mwana we.

Matayo 10:16-23

16 (A)“Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba. 17 (B)Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko z’Abakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo. 18 (C)Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga. 19 (D)Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo. 20 (E)Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe y’alyogerera mu mmwe!

21 (F)“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta. 22 (G)Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa. 23 Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana w’Omuntu n’ajja.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.