Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
Yakobo omuddizza ebibye.
2 (B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3 (C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4 (D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
oleke okutusunguwalira.
5 (E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6 (F)Tolituzaamu ndasi,
abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7 Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
era otuwe obulokozi bwo.
8 (G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.
87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
2 (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 (B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
ggwe ekibuga kya Katonda.
4 (C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
5 Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 (D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”
7 (E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 (C)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 (D)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 (E)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 (F)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 (G)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 (H)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (I)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (J)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 (K)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (L)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (M)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 (N)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 (O)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (P)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (Q)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (R)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 (S)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (T)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (U)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Okuyitibwa kwa Musa
3 (A)Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu[a]. 2 (B)Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira. 3 Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
4 Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.” 5 (C)Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.” 6 (D)Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.”
Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
7 (E)Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe. 8 (F)Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 9 (G)Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya. 10 (H)Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”
11 (I)Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?” 12 (J)Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.”
23 Olw’okukkiriza bakadde ba Musa bwe yazaalibwa baamukwekera emyezi esatu, kubanga baalaba nga mwana mulungi, ne batatya kiragiro kya Falaawo.
24 (A)Olw’okukkiriza Musa ng’akuze, yagaana okuyitibwa omwana w’omumbejja wa Falaawo 25 (B)n’alondawo okubonaabonera awamu n’abantu ba Katonda n’agaana okuba mu ssanyu ery’ekibi eriggwaawo amangu. 26 (C)Musa yalaba nti okuvumibwa olwa Kristo kisingira wala obugagga bw’e Misiri, kubanga yali asuubira empeera. 27 (D)Olw’okukkiriza Musa yava mu Misiri nga tatya busungu bwa Falaawo, kubanga yanywera ng’alaba Katonda oyo atalabika na maaso buuso ag’omubiri. 28 (E)Olw’okukkiriza Musa yassaawo Embaga ejjuukirirwako Okuyitako, n’amansira omusaayi omuzikiriza aleme okutta abaana ababereberye Abayisirayiri.
29 (F)Olw’okukkiriza Abayisirayiri baasomoka Ennyanja Emyufu ng’abayita ku lukalu. Naye Abamisiri bwe baakigezaako amazzi ne gabasaanyaawo.
30 (G)Olw’okukkiriza, bbugwe wa Yeriko yagwa nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.
31 (H)Olw’okukkiriza malaaya Lakabu, teyazikirizibwa n’abajeemu, kubanga yasembeza abakessi, n’emirembe.
6 (A)Yesu n’addamu nti, “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu. Tewali n’omu ajja eri Kitange wabula ng’ayita mu Nze. 7 (B)Singa muntegedde ne Kitange mwandimutegedde. Era okuva kaakano mumulabye era mumutegedde.”
8 Firipo n’amugamba nti, “Mukama waffe, tulage Kitaffe, kinaatumala.”
9 (C)Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’ 10 (D)Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze. 11 (E)Kale munzikirize nti ndi mu Kitange era nga ne Kitange ali mu Nze. Oba si ekyo munzikirize olw’emirimu gyokka.
12 (F)“Ddala ddala mbagamba nti buli anzikiriza alikola emirimu egyo gye nkola, era alikola egisinga egyo, kubanga Nze ŋŋenda eri Kitange. 13 (G)Era buli kye munaasabanga mu linnya Lyange nnaakibakoleranga, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana. 14 Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange nnaakikolanga.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.