Add parallel Print Page Options

35 Eriku n’ayongera okwogera nti,

“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.
    Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
(A)Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’
    Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

“Nandyagadde okukuddamu
    ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
(B)Tunula eri eggulu olabe;
    tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
(C)Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?
    Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
(D)Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,
    oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,
    era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
(E)Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,
    balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
10 (F)Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
    atuwa ennyimba ekiro,
11 (G)atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,
    era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
12 (H)Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira
    n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
13 (I)Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;
    Ayinzabyonna takufaako.
14 (J)Kale kiba kitya
    bw’ogamba nti tomulaba,
era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge
    era oteekwa okumulindirira;
15 oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza
    era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
16 (K)Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;
    obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”

36 Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

“Yongera okuŋŋumiikirizaako katono nkulage,
    nkyalina bye nnina okwogera ebifa ku Katonda.
(L)Amagezi ge nnina gava wala,
    era mmanyi nga Omutonzi wange alamula mu bwenkanya.
(M)Eky’amazima ebigambo byange si bikyamu,
    oyo akakasa by’amanyi y’ayogera naawe.

(N)“Laba, Katonda wa buyinza, tanyooma bantu;
    w’amaanyi, anywerera ku bigendererwa bye.
(O)Talamya bakozi ba bibi,
    era awa ababonyaabonyezebwa ebibasaanira.
(P)Taggya maaso ge ku batuukirivu,
    abatuuza ku ntebe ey’obwakabaka
    n’abagulumiza emirembe n’emirembe.
(Q)Naye abantu bwe baba basibiddwa enjegere
    nga banywezeddwa n’emiguwa egy’okulumwa
(R)n’abategeeza ensobi zaabwe, n’okwonoona kwabwe,
    nti, beewaggudde,
10 (S)aggula amatu gaabwe bawulirize okunenyezebwa
    n’abalagira beenenye ekibi kyabwe.
11 (T)Bwe bamugondera ne bamuweereza,
    ennaku zaabwe zonna balizimala mu kwesiima,
    era n’emyaka gyabwe mu kusanyuka.
12 (U)Naye bwe batamugondera,
    baalizikirizibwa n’ekitala,
    bafe nga tebalina magezi.

13 (V)“Ab’emitima egitatya Katonda baba n’obukyayi.
    Ne bw’abasiba, tebamukaabirira abasumulule.
14 (W)Bafiira mu buvubuka bwabwe
    era obulamu bwabwe buzikiririra mu basajja abenzi.
15 Anunula anyigirizibwa mu kubonaabona kwe,
    n’aggula okutu kwe mu kujoogebwa kwe.

16 (X)“Akusendasenda okukuggya mu kamwa k’okubonaabona,
    akuteeke mu kifo ekigazi ekitaliimu kuziyizibwa,
    omanye emirembe gy’emeeza yo ejjudde emmere ennungi.
17 (Y)Naye kaakano weetisse omugugu ogw’okusalirwa omusango abakozi b’ebibi gwe basaanira;
    okusalirwa omusango n’obwenkanya byakunyweza.
18 (Z)Weegendereze oleme kukkiriza kusendebwasendebwa;
    obunene bw’enguzi buleme okukukyamya.
19 Obugagga bwo
    oba okufuba kwo kwonna
    binaakuyamba okukuggya mu buyinike?
20 (AA)Teweegomba budde bwa kiro
    olyoke owalule abantu okuva mu bifo byabwe.
21 (AB)Weegendereze oleme kukola bitali bya butuukirivu,
    by’osinga okwagala okukira okubonyaabonyezebwa.

22 (AC)“Laba Katonda yagulumira mu maanyi ge;
    ani ayigiriza nga ye?
23 (AD)Ani eyali amukubidde amakubo,
    oba okumugamba nti, ‘Ky’okoze si kituufu?’