Add parallel Print Page Options

Obujeemu bwa Yerusaalemi

(A)Zikisanze ekibuga ekijooga,
    ekijeemu era ekyonoonefu!
(B)Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
    wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
    wadde okusemberera Katonda waakyo.
(C)Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
    era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
    bakirimululu abatafissaawo kantu.
(D)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
    era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
    era bamenya amateeka.
(E)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
    era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
    era buli lukya talemwa;
    naye atali mutuukirivu taswala.

(F)“Nsanyizzaawo amawanga,
    era ebigo byabwe bifufuggaziddwa;
nzisizza enguudo zaabwe,
    ne wataba ayitamu.
Ebibuga byabwe bizikiridde,
    ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
(G)Nagamba eri ekibuga nti,
    ‘Ddala onontya,
    era onokkiriza okubuulirirwa.’
Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo,
    n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko.
Naye beesunganga nnyo
    okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
(H)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
    Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
    ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
    gulisaanyaawo ensi yonna.

Essuubi lya Isirayiri

(I)“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga;
    bonna balikoowoola erinnya lya Mukama,
    okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 (J)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
    abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
    balindeetera ssaddaaka.
11 (K)Ku lunaku olwo toliswala
    olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi:
kubanga ndiggya wakati mu ggwe
    abo abeenyumiririza mu malala,
toliddayo nate kwegulumiza
    ku lusozi lwange olutukuvu.
12 (L)Naye ndireka wakati mu ggwe
    abantu abakakkamu era abeetoowaze,
    abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 (M)Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu
    so tebalyogera bya bulimba
    wadde okuba abakuusa.
Balirya, baligalamira,
    so tewaliba alibatiisa.”

Oluyimba olw’Essanyu

14 (N)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
    yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
    ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (O)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
    agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
    tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (P)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
    “Totya, ggwe Sayuuni;
    emikono gyo gireme okuddirira.
17 (Q)Mukama Katonda ali naawe,
    ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
    alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
    alikusanyukira n’okuyimba.”

18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
    ndigibaggyako;
    kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (R)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
    abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
    ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
    mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (S)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
    mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
    mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
    nga mulaba,”
    bw’ayogera Mukama.