Add parallel Print Page Options

(A)Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
    wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
    wadde okusemberera Katonda waakyo.
(B)Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
    era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
    bakirimululu abatafissaawo kantu.
(C)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
    era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
    era bamenya amateeka.

Read full chapter