Add parallel Print Page Options

16 (A)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
    n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (B)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
    Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (C)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
    Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.

Read full chapter