Add parallel Print Page Options

38 (A)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
    n’abasonyiwanga,
    n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
    n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.

Read full chapter

10 (A)Bangi balitukuzibwa ne balongoosebwa obutabaako na bbala, naye abatali batuukirivu balyeyongera okukola ebibi. Ku batali batuukirivu tekuliba ategeera, naye ab’amagezi baliba n’okutegeera.

Read full chapter

(A)Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
    ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
    mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
    nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”

Read full chapter

Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala.

Read full chapter