Font Size
Zabbuli 40:11-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zabbuli 40:11-13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (B)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
mpweddemu amaanyi.
13 (C)Onsasire ayi Mukama ondokole;
Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.