Zabbuli 35:26-28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
baswazibwe era banyoomebwe.
27 (B)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”
28 (C)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.