Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

(A)Tontwalira mu boonoonyi,
    abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
    so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.

Read full chapter

(A)“Mwegendereze mikwano gyammwe
    era temwesiganga baganda bammwe:
kubanga buli wa luganda mulimba
    na buli wamukwano agenda awaayiriza buwaayiriza.
Buli muntu alimba muliraanwa we
    era tewali n’omu ayogera mazima.
Bayigirizza ennimi zaabwe okulimba
    ne beemalamu amaanyi nga bakola ebitali bya butuukirivu.
(B)Mubeera wakati mu bulimba;
    mu bulimba bwabwe bagaana okummanya,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

(C)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Laba, ndibalongoosa ne mbagezesa,
    kiki ate kye nnaakolera abantu bange
    kubanga boonoonye?
(D)Olulimi lwabwe kasaale akatta,
    lwogera bya bulimba,
buli muntu ayogeza mirembe n’akamwa ke,
    naye mu mutima gwe ategeka kumutega.

Read full chapter