Add parallel Print Page Options

47 (A)Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
    era akakkanya amawanga ne ngafuga.
    Amponyeza abalabe bange.
48 (B)Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
    n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 (C)Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
    era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.

Read full chapter