Add parallel Print Page Options

24 (A)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.

25 (B)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
    n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (C)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
    n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.

Read full chapter