Zabbuli 130 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Oluyimba nga balinnya amadaala.
130 (A)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2 (B)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3 (C)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4 (D)Naye osonyiwa;
noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5 (E)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6 (F)Emmeeme yange erindirira Mukama;
mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.