Add parallel Print Page Options

Ekibuga Yeriko kizingizibwa

(A)Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. (B)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. (C)Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. (D)Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”

Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume.” (E)N’alagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama.”

Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama bw’ebavaako emabega. (F)Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona ab’amakondeere, olwo eggye ery’emabega ne ligoberera Essanduuko ng’eno amakondeere bwe ganyaanyaagira. 10 (G)Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.” 11 Bw’etyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.

12 Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama, 13 ne bakabona omusanvu abafuuyi b’amakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye ery’emabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya Mukama, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa. 14 Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.

Okugwa kwa Yeriko

15 (H)Ku lunaku olw’omusanvu baakeera mu matulutulu ne beetooloola ekibuga nga bulijjo, kyokka olwo lwe lwali olunaku lwokka lwe baakyetooloola emirundi omusanvu. 16 Ku mulundi ogw’omusanvu nga bakabona bamaze okufuuwa amakondeere, Yoswa n’alagira abantu nti, “Muleekaane kubanga Mukama abawadde ekibuga. 17 (I)Era ekibuga n’ebintu byamu byonna bya kuweebwayo eri Mukama bizikirizibwe okuggyako Lakabu yekka malaaya, oyo n’abantu be baanaabeera nabo mu nju ye. Kubanga yakweka abakessi baffe be twasindikayo. 18 (J)Naye mmwe mwekuume ebyo ebiweereddwayo eri Mukama okuzikirizibwa muleme kubitwala kubanga kiyinza okuleetera Abayisirayiri bonna ekikolimo n’okuzikirira. 19 (K)Kyokka ffeeza ne zaabu n’ebintu byonna eby’ekikomo n’eby’ekyuma bitukuvu eri Mukama era byakutereka mu ggwanika lya Mukama.”

20 (L)Awo Abayisirayiri ne baleekaana nnyo, amakondeere bwe gaavuga. Amangu ennyo ng’amakondeere gakavuga Abayisirayiri ne boogera n’eddoboozi ery’omwanguka, era ekisenge kya bbugwe ekyebunguludde ekibuga Yeriko ne kyegonnomola wansi. Awo ne bayingira ne bakiwamba. 21 (M)Ne bazikiriza byonna ebyakirimu, abasajja n’abakazi, n’abaana abato, n’ente, n’endiga, n’endogoyi ne byonna ne babizikiriza n’ekitala.

Lakabu Atalizibwa

22 (N)Awo Yoswa n’agamba abasajja ababiri abaatumibwa okuketta ensi eri nti, “Mugende muleete malaaya oli n’abantu be bonna baali nabo nga bwe mwamusuubiza.” 23 (O)Bwe batyo abavubuka abo abakessi ne bagenda ne bakola nga bwe baalagirwa, ne baleeta Lakabu malaaya, ne kitaawe, ne nnyina, ne bannyina n’abantu be bonna be yali nabo, ne babateeka ebweru w’olusiisira lw’Abayisirayiri. 24 (P)Awo ne balyoka bookya ekibuga ne bazikiriza byonna ebyakirimu okuggyako ffeeza, zaabu n’ebintu eby’ekikomo n’eby’ekyuma bye baggyamu ne babitereka mu ggwanika ly’omu nnyumba ya Mukama. 25 (Q)Yoswa n’alekawo Lakabu malaaya n’ab’ennyumba ye era Lakabu n’abeera mu Isirayiri n’okutuusa kaakano kubanga yakweka abakessi Yoswa be yatuma okuketta ekibuga Yeriko. 26 (R)Yoswa n’alayira nti,

“Akolimirwe mu maaso ga Mukama omuntu yenna alyaŋŋanga nate okuzimba ekibuga kino Yeriko.
    Bw’alyaŋŋanga okuzimba omusingi gwakyo alifiirwa omwana we omubereberye.
Ate era bw’alyaŋŋanga okuwangamu enzigi z’emiryango gyakyo,
    alifiirwa omwana we asembayo owoobulenzi.”

27 (S)Bw’atyo Mukama n’abeera ne Yoswa, era ettutumu lya Yoswa ne libuna ensi eyo yonna.

La conquista de Jericó

Las puertas de Jericó estaban bien aseguradas por temor a los israelitas; nadie podía salir o entrar.

Pero el Señor dijo a Josué: «¡He entregado en tus manos a Jericó y a su rey con sus guerreros! Tú y tus soldados marcharán una vez alrededor de la ciudad; así lo harán durante seis días. Siete sacerdotes llevarán trompetas y marcharán frente al arca. El séptimo día ustedes marcharán siete veces alrededor de la ciudad, mientras los sacerdotes tocan las trompetas. Cuando todos escuchen el toque de trompeta, el pueblo deberá gritar a voz en cuello. Entonces los muros de la ciudad se derrumbarán y cada uno entrará sin impedimento».

Josué, hijo de Nun, llamó a los sacerdotes y ordenó: «Carguen el arca del pacto del Señor y que siete de ustedes lleven trompetas y marchen frente a ella». Y dijo al pueblo: «¡Adelante! ¡Marchen alrededor de la ciudad! Pero los hombres armados deben marchar al frente del arca del Señor».

Cuando Josué terminó de dar las instrucciones al pueblo, los siete sacerdotes marcharon al frente del arca del pacto del Señor tocando sus trompetas; y el arca del pacto les seguía. Los hombres armados marchaban al frente de los sacerdotes que tocaban las trompetas. Y tras el arca, marchaba la retaguardia. Durante todo ese tiempo las trompetas no cesaron de sonar. 10 Al resto del pueblo, en cambio, Josué le ordenó marchar en silencio, sin decir palabra alguna ni gritar hasta el día en que les diera la orden de gritar a viva voz.

11 Josué hizo llevar el arca del Señor alrededor de Jericó una sola vez. Después, el pueblo regresó al campamento para pasar la noche.

12 Al día siguiente, Josué se levantó temprano y los sacerdotes cargaron el arca del Señor. 13 Los siete sacerdotes que llevaban las trompetas tomaron la delantera y marcharon al frente del arca mientras tocaban sus trompetas. Los hombres armados marchaban al frente de ellos y tras el arca del Señor marchaba la retaguardia. ¡Nunca dejaron de oírse las trompetas! 14 También en este segundo día marcharon una sola vez alrededor de la ciudad y luego regresaron al campamento. Así hicieron durante seis días.

15 El séptimo día, a la salida del sol, se levantaron y marcharon alrededor de la ciudad tal como lo habían hecho los días anteriores, solo que en ese día repitieron la marcha siete veces. 16 A la séptima vuelta, los sacerdotes tocaron las trompetas y Josué ordenó al ejército: «¡Empiecen a gritar! ¡El Señor les ha entregado la ciudad! 17 Jericó, con todo lo que hay en ella, será destinada al exterminio como ofrenda al Señor. Solo se salvarán la prostituta Rajab y los que se encuentren en su casa, porque ella escondió a nuestros mensajeros. 18 No vayan a tomar nada de lo que ha sido destinado al exterminio para que ni ustedes ni el campamento de Israel se pongan en peligro de exterminio y de desgracia. 19 El oro y la plata y los utensilios de bronce y de hierro pertenecen al Señor: colóquenlos en su tesoro».

20 Entonces los sacerdotes tocaron las trompetas y la gente gritó a voz en cuello, ante lo cual las murallas de Jericó se derrumbaron. El pueblo avanzó sin detenerse y tomó la ciudad. 21 Mataron a filo de espada a todo hombre y mujer, joven y anciano. Lo mismo hicieron con las vacas, las ovejas y los burros; destruyeron todo lo que tuviera aliento de vida. ¡La ciudad entera quedó arrasada!

22 Ahora bien, Josué había dicho a los dos espías: «Vayan a casa de la prostituta y tráiganla junto con sus parientes, tal como se lo juraron». 23 Así que los jóvenes espías entraron y sacaron a Rajab junto con su padre, su madre y sus hermanos, y todas sus pertenencias, y llevaron a toda la familia a un lugar seguro, fuera del campamento israelita.

24 Solo entonces los israelitas incendiaron la ciudad con todo lo que había en ella, menos los objetos de plata, de oro, de bronce y de hierro, los cuales depositaron en el tesoro de la casa del Señor. 25 Así Josué salvó a la prostituta Rajab, a toda su familia y todas sus posesiones, por haber escondido a los mensajeros que él había enviado a espiar Jericó. Y desde entonces Rajab vive con el pueblo de Israel.

26 En aquel tiempo, Josué hizo este juramento: «¡Maldito sea en la presencia del Señor el que se atreva a reconstruir esta ciudad!

»Que eche los cimientos
    a costa de la vida de su hijo mayor.
Que ponga las puertas
    a costa de la vida de su hijo menor».

27 El Señor estuvo con Josué y este se hizo famoso por todo el país.