Add parallel Print Page Options

Okusaba Kwa Yona

Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba (A)nti,

“Mu nnaku yange ennyingi
    nakaabirira Mukama n’anziramu;
mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,
    era n’owulira eddoboozi lyange!
(B)Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,
    ne nzika, amayengo gonna,
    ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta
ne bimbikka
    ne binneetooloola.
(C)Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa
    mu maaso go;
Ddala ndiddayo nate
    okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
(D)Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;
    Amazzi nga ganneetoolodde
    era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,
    ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.
Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,
    Ayi Mukama Katonda wange.

(E)“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika
    ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.
Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka
    mu yeekaalu yo entukuvu.

(F)“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,
    beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
(G)Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,
    ndikuwa ssaddaaka.
Ddala ndituukiriza obweyamo bwange
    kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”

10 Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.