Add parallel Print Page Options

22 Piraato n’addamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”

23 Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna, 24 (A)abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.”

Kino kyabaawo okutuukiriza ekyawandiikibwa ekigamba nti:

“Baagabana ebyambalo byange,
    n’ekkanzu yange ne bagikubira akalulu.”

Ekyo kyennyini abaserikale kye baakolera ddala.

Read full chapter