Add parallel Print Page Options

12 (A)“Nkyalina bingi eby’okubategeeza naye kaakano temusobola kubitegeera. 13 (B)Naye Omwoyo ow’amazima, bw’alijja alibaluŋŋamya mu mazima gonna, kubanga, taliyogera ku bubwe, wabula anaabategeezanga ebyo by’awulira. Anaababuuliranga ebigenda okubaawo. 14 Oyo agenda kungulumiza, kubanga agenda kubategeeza bye nnaamubuuliranga.

Read full chapter