Add parallel Print Page Options

(A)Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
    n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.

Read full chapter

16 (A)Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
    n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
    n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
    sirireka bantu bange.

Read full chapter

20 (A)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
    olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.

Read full chapter

(A)Mukama Katonda agamba nti,

“Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu
    era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.

Read full chapter

(A)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
    amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
(B)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
    bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
(C)gaakulukutira ku nsozi ennene,
    ne gakkirira wansi mu biwonvu
    mu bifo bye wagategekera.
Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
    na kuddayo kubuutikira nsi.

Read full chapter

13 (A)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
    era ye yatonda n’embuyaga
    era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
    era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.

Read full chapter