A A A A A
Bible Book List

Yobu 6 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Yobu Ayanukula

Yobu n’ayanukula ng’agamba nti,

“Singa okweraliikirira kwange,
    n’okubonaabona kwange bipimibwa ne biteekebwa ku minzaani!
Weewaawo byandisinze omusenyu gw’ennyanja okuzitowa;
    ebigambo byange kyenvudde mbyanguyiriza.
Obusaale bwa Ayinzabyonna buli mu nze
    n’omwoyo gwange gunywedde obusagwa bwabwo:
    entiisa ya Katonda erwana nange.
Entulege ekaaba awali omuddo,
    oba ente ennume eŋŋooŋŋa awali emmere yaayo?
Emmere etaliimu nsa eriika omutali munnyo,
    oba amazzi g’eggi okubaamu akawoomerera?
Omutima gwange tegusikirizibwa kubikombako,
    biri ng’emmere etangasa.

“Singa Katonda ampa kye nsaba,
    n’ampa kye nsuubira,
yandisiimye okumbetenta
    ne mmalibwawo omukono gwe.
10 Kino kyandikkakkanyizza
    obulumi obutakoma
    kubanga sigaanye bigambo bya Mutukuvu.
11 Amaanyi ngaggya wa, ndyoke mbe n’essuubi?
    Era enkomerero yange, eruwa ndyoke ngumiikirize?
12 Amaanyi gange ga mayinja
    oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 Mu mazima sirina maanyi
    n’obusobozi bwanzigwako.
14 Oyo agaana ebyekisa okuva eri mukwano gwe
    tafaayo kutya Ayinzabyonna.
15 Baganda bange tebeesigika, bali ng’akagga akabooga
    ate ne kakalira,
16 akaddugalirira
    buli lwe kakwata, ng’omuzira,
17 ate ne kaggwaawo
    buli lwe wabaawo ebbugumu.
18 Ebibinja by’abatambuze we biviira ku mugendo
    ne biraga mu ddungu ne bizikirira.
19 Abatambuze b’e Teema banoonya,
    bo ab’e Seeba ne balindirira n’essuubi.
20 Baalina essuubi
    naye bwe baatuukayo ne banyolwa nnyo.
21 Kaakano bwe mundabye ne mutya
    ne mukakasizza ddala nga temuliiko kye muyinza kukola.
22 Nnali mbagambye nti, ‘Mumpe ekirabo,’
    oba nti, ‘Mumpeereyo ekintu ku by’obugagga bwammwe,
23 okumponya nve mu mukono gw’omulabe,
    n’okumpeerayo ekintu mpone emitego gy’abakambwe’? 

24 “Njigiriza nange n’aba musirise;
    ndaga we nsobezza.
25 Ebigambo eby’amazima nga bya bulumi!
    Naye okuwakana kwammwe kukakasa ki?
26 Mugezaako okugolola ebigambo byange,
    ne mufuula ebigambo by’omuntu ali obubi okuba ng’empewo?
27 Mukubira ne bamulekwa akalulu
    ate ne mukubira ne mukwano gwammwe.

28 “Naye kaakano mubeere ba kisa muntunuulire.
    Ndabika ng’omulimba?
29 Mufumiitirize, temusuula bwenkanya;
    Mukirowoozeeko, kubanga obujulirwa bwange buli ku kalebwerebwe.
30 Emimwa gyange girabika ng’egirimba?
    Emimwa gyange tegisobola kutegeera ttima?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes