Add parallel Print Page Options

14 (A)Ekizikiza kibabuutikira emisana,
    ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.

Read full chapter

(A)Amazima gatuli wala,
    n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
    we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (B)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
    ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
    ne tuba ng’abafu.

Read full chapter

(A)Eyazaala omusanvu ayongobedde,
    awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
    amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
    mu maaso ga balabe baabwe,”
    bwayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
    era afuula ekisiikirize okubeera enkya
    era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
    ne gafukirira ensi ng’enkuba,
    Mukama lye linnya lye.

Read full chapter

(A)Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
    n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
    n’obudde bubazibirire.

Read full chapter