Yobu 5:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ekizikiza kibabuutikira emisana,
ne bawammanta mu ttuntu ng’ekiro.
Isaaya 59:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Amazima gatuli wala,
n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (B)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
ne tuba ng’abafu.
Yeremiya 15:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Eyazaala omusanvu ayongobedde,
awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
mu maaso ga balabe baabwe,”
bwayogera Mukama.
Amosi 5:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Oyo eyakola ettendo eriri mu mmunyeenye ezaaka ng’ebizungirizi
era afuula ekisiikirize okubeera enkya
era akyusa obudde ne buva mu kitangaala ne bufuuka ekiro,
ayita amazzi g’omu nnyanja
ne gafukirira ensi ng’enkuba,
Mukama lye linnya lye.
Mikka 3:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
n’obudde bubazibirire.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.