Yobu 38:8-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
bwe yava mu lubuto lwayo?
9 “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 (B)bwe n’abiteekerawo we bikoma
ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 (C)bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?
Zabbuli 104:6-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 (B)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 (C)gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
Engero 8:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
amazzi galeme kusukka we yagalagira,
ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
Yeremiya 5:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
“temunkankanira?
Nateeka omusenyu okuba ensalo y’ennyanja,
olukomera olutaliggwaawo, lwetasobola kuvvuunuka;
wadde ng’amayengo galukubaakuba, tegasobola kuluwaguza,
gayinza okuwuluguma, naye tegasobola kuluyitako.
2 Peetero 3:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Beefuula abatamanyi nti edda Katonda yalagira bulagizi, era olw’ekigambo eggulu n’ensi ne bitondebwa. Olw’ekigambo kya Katonda ensi yatondebwa ng’eggyibwa mu mazzi era n’ebeera wakati w’amazzi.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.