Add parallel Print Page Options

26 (A)Omuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
    Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
    Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 (B)Awo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
    Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
    naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 (C)Yanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
    kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

Read full chapter