Yobu 29:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 Bwe nabamwenyeranga nga tebakikkiriza;
ekitangaala ky’oku maaso gange kyali kya muwendo gye bali.
Zabbuli 31:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
Zabbuli 80:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
otutunuulize amaaso ag’ekisa,
otulokole.
Zabbuli 119:135
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
135 (A)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
era onjigirizenga amateeka go.
Olubereberye 43:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Yusufu bwe yayimusa amaaso, n’alaba Benyamini muganda we, mutabani wa nnyina. N’ababuuza nti, “Ono ye muto wammwe gwe mwantegeezako? Katonda akuwe omukisa mwana wange.”
Read full chapter
Zabbuli 25:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
Zabbuli 86:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Onkyukire, onsaasire,
ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.