A A A A A
Bible Book List

Yobu 25 Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Birudaadi Addamu

25 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;
    ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.
Amaggye ge gasobola okubalibwa?
    Ani atayakirwa musana gwe?
Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?
    Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?
Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,
    n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.
Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,
    omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.

  Back

1 of 1

You'll get this book and many others when you join Bible Gateway Plus. Learn more

Viewing of
Cross references
Footnotes