Yeremiya 6:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
Nedda.
Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
bw’ayogera Mukama.
Mikka 3:6-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,
n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.
Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,
n’obudde bubazibirire.
7 (B)Abalabi baliswazibwa
n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.
Bonna balibikka amaaso gaabwe
kubanga Katonda tabaanukula.”
Matayo 3:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ebyambalo bya Yokaana byakolebwa mu bwoya bwa ŋŋamira, era nga yeesibya lukoba lwa ddiba. N’emmere ye yali nzige na mubisi gwa njuki.
Read full chapter
2 Bassekabaka 1:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Ne bamuddamu nti, “Abadde ayambadde ekyambalo kya bwoya, nga yeesibye n’olukoba lwa bwoya.”
Kabaka n’ayogera nti, “Oyo yandiba Eriya Omutisubi.”
Read full chapter
Isaaya 20:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)mu kiseera ekyo Mukama Katonda n’ayogera ne Isaaya mutabani wa Amozi nti, “Genda osumulule ebibukutu mu kiwato kyo era oyambulemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo n’atambula engatto ng’aziggyemu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.