Add parallel Print Page Options

(A)Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
    yatamiiza ensi yonna.
Amawanga gaanywa wayini we,
    kyegavudde galaluka.
(B)Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
    Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
    oboolyawo anaawonyezebwa.

(C)“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
    naye tayinza kuwonyezeka.
Leka tumuleke buli muntu adde mu nsi ye,
    kubanga omusango gwe gutuuse mu bwengula,
    gusituse gulinnye okutuuka ku bire.’

Read full chapter