Add parallel Print Page Options

(A)“Mudduke Babulooni.
    Mudduke okuwonya obulamu bwammwe.
    Temusaanawo olw’ebibi bye.
Kiseera kya Mukama okwesasuza;
    alimusasula ekyo ekimusaanira.
(B)Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
    yatamiiza ensi yonna.
Amawanga gaanywa wayini we,
    kyegavudde galaluka.
(C)Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
    Mukikungubagire.
Munoonye eddagala olw’obulumi bw’akyo
    oboolyawo anaawonyezebwa.

Read full chapter