Yeremiya 48:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
olwa Mowaabu yenna nkaaba,
nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
Yeremiya 48:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
Yeremiya 48:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
Yeremiya 4:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Okuzikirizibwa kweyongeddeko
era ensi yonna eyonooneddwa.
Eweema zange zisaanyiziddwawo mu kaseera buseera,
n’entimbe zange nga kutemya kikowe.
Yeremiya 48:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.