Add parallel Print Page Options

12 (A)Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe;
    emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi.
Omulwanyi omu alitomera omulala
    bombi ne bagwa.”

13 (B)Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:

14 (C)“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli;
    kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti,
‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke
    kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’

Read full chapter