Add parallel Print Page Options

19 (A)Obulumi, Ayi Obulumi!
    Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
    Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
    mpulidde enduulu z’olutalo.

Read full chapter

11 (A)Amaaso gange gakooye olw’okukaaba
    n’emmeeme yange enyiikadde
n’omutima gwange gulumwa
    olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange,
n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira
    wakati mu nguudo ez’omu kibuga.

Read full chapter

25 (A)Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe
    ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.
Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira
    abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.

Read full chapter

15 (A)Ebweru waliyo ekitala
    ne munda waliyo kawumpuli n’enjala.
Abali ku ttale
    balifa kitala,
abali mu kibuga
    balimalibwawo kawumpuli n’enjala.

Read full chapter