Yeremiya 4:17-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
bw’ayogera Mukama.
18 (B)“Empisa zammwe,
n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
Nga kya bulumi!
Nga kifumita omutima.”
19 (C)Obulumi, Ayi Obulumi!
Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
mpulidde enduulu z’olutalo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.