Add parallel Print Page Options

17 (A)Bakyetoolodde ng’abasajja abakuuma ennimiro
    kubanga Yuda yanjeemera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.
18 (B)“Empisa zammwe,
    n’ebikolwa byammwe bye bibaleeseeko bino.
Kino kye kibonerezo kyammwe.
    Nga kya bulumi!
    Nga kifumita omutima.”

19 (C)Obulumi, Ayi Obulumi!
    Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
    Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
    mpulidde enduulu z’olutalo.

Read full chapter