Add parallel Print Page Options

29 (A)Abakaludaaya abanaalumba ekibuga kino bajja kukikumako omuliro, bakyokye kiggye, n’amayumba gonna abantu mwe bankwasiza obusungu nga bootereza Baali obubaane waggulu ku mayumba era n’okuwaayo ebiweebwayo eby’okunywa eri bakatonda abalala.’ 

Read full chapter

13 (A)Nebukadduneeza n’ayokya yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna eza Yerusaalemi. Buli kizimbe kyonna eky’omugaso n’akyokya.

Read full chapter

19 (A)Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu.

Read full chapter

42 (A)Awo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti,

“ ‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana,
    ggw’ennyumba ya Isirayiri?

Read full chapter

18 (A)Abaana balonda enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, olwo abakazi ne bakanda eŋŋaano ne bakolera kabaka w’eggulu omukazi emigaati. Bafuka ekiweebwayo ekyokunywa eri bakatonda abalala okunkwasa obusungu.

Read full chapter

28 (A)Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa.

Read full chapter