Add parallel Print Page Options

(A)Noolwekyo enkuba kyevudde eziyizibwa,
    n’enkuba eya ttoggo n’etetonnya.
Naye era otemya nga malaaya
    tokwatibwa nsonyi.

Read full chapter

(A)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
(B)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
(C)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

Read full chapter

(A)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
    era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[a]
    awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
    Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:9 Sodomu ky’ekibuga ekiriraanye ekifo Lutti gye yassa eweema ye, bwe yali ayawukanye ne Ibulaamu, oluvannyuma eyayitibwa Ibulayimu. Mukama yasaanyaawo Sodomu ne Gomora n’omuliro ogwa salufa ogwava mu ggulu kubanga abatuuze baayo baayonoona nnyo eri Mukama (Lub 13:12)

15 (A)Bakwatibwa ensonyi olw’ebikolwa byabwe eby’emizizo?
    Nedda.
    Tebakwatibwa nsonyi n’akatono.
Noolwekyo baligwira wamu n’abo abaligwa;
    balisuulibwa wansi bwe ndibabonereza,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter