Add parallel Print Page Options

13 (A)Mukkirize bukkiriza ekibi kyammwe,
    mwajeemera Mukama Katonda wammwe,
mwasinza bakatonda abalala,
    wansi wa buli muti oguyimiridde,
    era ne mutaŋŋondera,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

14 (B)“Mukomeewo mmwe abaana abanvaako,” bw’ayogera Mukama; “kubanga nze bbammwe, era ndibalondamu omu ku omu okuva mu buli kibuga, babiri babiri okuva mu buli kika mbaleete ku lusozi Sayuuni. 15 (C)Era ndibawa abasumba abakola ng’omutima gwange bwe gwagala, abalibakulembera mu kumanya era ne mu kutegeera.

Read full chapter