Add parallel Print Page Options

11 (A)Mukama n’aŋŋamba nti, Isirayiri asudde obwesigwa, mutukuvu okusinga Yuda atali mwesigwa.

Read full chapter

22 (A)“Mukomeewo mmwe abantu abatali beesigwa,
    nnaabawonya ne mbafuula abeesigwa.”
Ne mugamba nti, “Weewaawo tujja kudda gy’oli,
    kubanga ggwe Mukama Katonda waffe.

Read full chapter

(A)Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,
    era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[a]
    awatali kukweka n’akatono.
Zibasanze!
    Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:9 Sodomu ky’ekibuga ekiriraanye ekifo Lutti gye yassa eweema ye, bwe yali ayawukanye ne Ibulaamu, oluvannyuma eyayitibwa Ibulayimu. Mukama yasaanyaawo Sodomu ne Gomora n’omuliro ogwa salufa ogwava mu ggulu kubanga abatuuze baayo baayonoona nnyo eri Mukama (Lub 13:12)

(A)Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;
    Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olw’omusango gwabwe;
    ne Yuda alyesittalira wamu nabo.

Read full chapter

14 Naye emmere ye erimwonoonekera mu byenda,
    era erifuuka butwa bwa nsweera munda ye.

Read full chapter

10 (A)Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga
    era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba.
Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu
    n’emitwe gyammwe mugimwe.
Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka,
    era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.

Read full chapter

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
    obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
    tatya Katonda.

Read full chapter