Yeremiya 22:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.
Read full chapter
Zekkaliya 7:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we. 10 (B)Temutulugunyanga bannamwandu, n’abatalina bakitaabwe, n’abatambuze wadde abaavu, era tewateekwa kubaawo muntu n’omu ku mmwe alowooza mu mutima gwe okukola obulabe ku muganda we!’
Read full chapter
Zekkaliya 8:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe;
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.