Yeremiya 16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olunaku olw’Akabi
16 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kigamba nti, 2 (A)“Towasa, kuzaalira balenzi na bawala mu kifo kino. 3 (B)Kubanga kino Mukama ky’agamba ku balenzi n’abawala abazaalibwa mu nsi eno era ne ku bakazi ba nnyaabwe ne ku basajja ba kitaabwe. 4 (C)Balifa endwadde ez’akabi. Tebalibakungubagira wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisaaniko ebisuuliddwa ku ttaka. Balizikirira na kitala era balifa njala; n’emirambo gyabwe girifuuka mmere ya binyonyi eby’omu bbanga n’ebisolo eby’omu nsiko.”
5 Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Toyingira mu nnyumba we balya emmere y’olumbe, togenda kukungubaga wadde okubasaasira kubanga nziggyewo omukisa gwange n’okwagala kwange era n’okusaasira kwange ku bantu bano,” bw’ayogera Mukama. 6 (D)Bonna ab’ekitiibwa n’abakopi baakufiira mu nsi eno. Tebajja kuziikibwa wadde okukungubagirwa era tewali ajja kwesala misale wadde okumwa omutwe ku lwabwe. 7 (E)Tewaliba n’omu aliwaayo mmere okuliisa abakungubagira abafiiriddwa, ne bwaliba kitaabwe oba nnyaabwe nga kwe kuli afudde; tewaliba n’omu alibawaayo wadde ekyokunywa okubakubagiza.
8 (F)Era toyingiranga mu nnyumba muli kinyumu n’otuula okulya n’okunywa. 9 (G)Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.
10 (H)“Bw’oligamba abantu bino byonna ne bakubuuza nti, ‘Lwaki Mukama atutuusizaako akabi kano konna? Kibi ki kye tukoze? Musango ki gwe tuzizza eri Mukama Katonda waffe?’ 11 (I)Kale bagambe nti, ‘Kubanga bakitammwe bandeka ne batakuuma mateeka gange,’ bw’ayogera Mukama, ‘ne bagoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza. Bandeka ne batakuuma mateeka gange. 12 (J)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera. 13 (K)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
14 (L)“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama. “Abantu lwe bataliddayo kwogera nti, ‘Ddala nga Katonda bw’ali omulamu eyaggya Isirayiri mu nsi y’e Misiri,’ 15 (M)naye baligamba nti, ‘Ddala nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya Abayisirayiri mu nsi ey’omu bukiikakkono era n’okuva mu nsi zonna gye yali abasudde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe.
16 (N)“Naye kaakano leka ntumye abavubi bange,” bw’ayogera Mukama, “era bajja kubavuba. Ng’ekyo kiwedde nzija kutumya abayizzi bange, era bajja kubayigga ku buli lusozi era na buli kasozi na buli lwatika lwonna mu njazi. 17 (O)Amaaso gange galaba buli kye bakola, tebinkwekeddwa wadde obutali butuukirivu bwabwe okuunkwekebwa. 18 (P)Ndibasasula olw’obutali butuukirivu bwabwe n’olw’ekibi kyabwe emirundi ebiri, kubanga boonoonye ensi yange olw’ebintu ebitaliimu bulamu ne bajjuza omugabo gwange ebifaananyi bya bakatonda baabwe abakolerere, eby’emizizo.”
19 (Q)Ayi Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange,
ekiddukiro kyange mu biro eby’okulabiramu ennaku,
bannaggwanga balijja gy’oli,
okuva ku nkomerero z’ensi bagambe nti,
“Bakitaffe tebaalina kantu okuggyako bakatonda ab’obulimba,
ebifaananyi ebikolerere ebitagasa ebitaabayamba.
20 (R)Abantu beekolera bakatonda baabwe?
Ye, naye si Katonda!
21 “Noolwekyo ndibayigiriza,
ku mulundi guno;
ŋŋenda kubalaga amaanyi gange n’obuyinza bwange.
Olwo balyoke bamanye nti
erinnya lyange nze Mukama.”
Jeremiah 16
Christian Standard Bible
No Marriage for Jeremiah
16 The word of the Lord came to me: 2 “Do not marry or have sons or daughters in this place. 3 For this is what the Lord says concerning sons and daughters born in this place as well as concerning the mothers who bear them and the fathers who father them in this land: 4 They will die from deadly diseases. They will not be mourned or buried but will be like manure on the soil’s surface.(A) They will be finished off by sword and famine. Their corpses will become food for the birds of the sky and for the wild animals of the land.(B)
5 “For this is what the Lord says: Don’t enter a house where a mourning feast is taking place.[a] Don’t go to lament or sympathize with them, for I have removed my peace from these people as well as my faithful love and compassion.” This is the Lord’s declaration.(C) 6 “Both great and small will die in this land without burial. No lament will be made for them, nor will anyone cut himself or(D) shave his head for them.[b] 7 Food won’t be provided for the mourner(E) to comfort him because of the dead. A consoling drink won’t be given him for the loss of his father or mother. 8 Do not enter the house where feasting is taking place to sit with them to eat and drink. 9 For this is what the Lord of Armies, the God of Israel, says: I am about to eliminate from this place, before your very eyes and in your time, the sound of joy and gladness, the voice of the groom and the bride.(F)
Abandoning the Lord and His Law
10 “When you tell these people all these things, they will say to you, ‘Why has the Lord declared all this terrible disaster against us?(G) What is our iniquity? What is our sin that we have committed against the Lord our God?’ 11 Then you will answer them, ‘Because your ancestors abandoned me(H)—this is the Lord’s declaration—and followed other gods, served them, and bowed in worship to them.(I) Indeed, they abandoned me and did not keep my instruction. 12 You did more evil than your ancestors.(J) Look, each one of you was following the stubbornness of his evil heart, not obeying me. 13 So I will hurl you from this land into a land that you and your ancestors have not known.(K) There you will worship other gods(L) both day and night, for I will not grant you grace.’[c]
14 “However, look, the days are coming”(M)—the Lord’s declaration—“when it will no longer be said, ‘As the Lord lives who brought the Israelites from the land of Egypt,’(N) 15 but rather, ‘As the Lord lives who brought the Israelites from the land of the north(O) and from all the other lands where he had banished them.’ For I will return them to their land that I gave to their ancestors.(P)
Punishment of Exile
16 “I am about to send for many fishermen”(Q)—this is the Lord’s declaration—“and they will fish for them. Then I will send for many hunters, and they will hunt them down on every mountain and hill and out of the clefts of the rocks, 17 for my gaze takes in all their ways.(R) They are not concealed from me, and their iniquity is not hidden from my sight. 18 I will first repay them double for their iniquity(S) and sin because they have polluted my land. They have filled my inheritance with the carcasses of their abhorrent and detestable idols.”
19 Lord, my strength and my stronghold,
my refuge in a time of distress,(T)
the nations will come to you
from the ends of the earth, and they will say,
“Our ancestors inherited only lies,
worthless idols(U) of no benefit at all.”
20 Can one make gods for himself?
But they are not gods.(V)
21 “Therefore, I am about to inform them,
and this time I will make them know
my power and my might;
then they will know that my name is the Lord.”(W)
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
The Christian Standard Bible. Copyright © 2017 by Holman Bible Publishers. Used by permission. Christian Standard Bible®, and CSB® are federally registered trademarks of Holman Bible Publishers, all rights reserved.