Add parallel Print Page Options

10 (A)Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
    omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
    kyokka buli muntu ankolimira.

11 (B)Mukama agamba nti,

“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
    ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
    mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.

12 (C)“Omusajja ayinza okumenya ekikomo
    oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?

Read full chapter