Add parallel Print Page Options

(A)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.

Read full chapter

(A)Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

Read full chapter

18 (A)“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 19 (B)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20 (C)Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

14 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditeeka ekikoligo eky’ekyuma mu nsingo z’amawanga gano gonna baweereze Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era balimuweereza. Ndimuwa obuyinza n’ensolo azifuge.’ ”

Read full chapter

37 (A)Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa; 38 (B)era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.

Read full chapter