Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

Katonda Agaana Okusaba kwa Zeddekiya

21 (A)Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti, (B)“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”

Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti, (C)‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino. (D)Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi. (E)Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino. (F)Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa. (G)Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe. 10 (H)Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

11 (I)“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama; 12 (J)ggwe ennyumba ya Dawudi,

“ ‘kino Mukama ky’agamba:
    Musale emisango mu bwenkanya,
    mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,
obusungu bwange buleme kuvaayo
    bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,
    nga tewakyali n’omu abuziyiza.
13 (K)Laba nkugguddeko olutalo,
    ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu,
    ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama,
mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba?
    Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
14 (L)Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,
    era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe,
gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ”
    bw’ayogera Mukama.

God Rejects Zedekiah’s Request

21 The word came to Jeremiah from the Lord when King Zedekiah(A) sent to him Pashhur(B) son of Malkijah and the priest Zephaniah(C) son of Maaseiah. They said: “Inquire(D) now of the Lord for us because Nebuchadnezzar[a](E) king of Babylon(F) is attacking us. Perhaps the Lord will perform wonders(G) for us as in times past so that he will withdraw from us.”

But Jeremiah answered them, “Tell Zedekiah, ‘This is what the Lord, the God of Israel, says: I am about to turn(H) against you the weapons of war that are in your hands, which you are using to fight the king of Babylon and the Babylonians[b] who are outside the wall besieging(I) you. And I will gather them inside this city. I myself will fight(J) against you with an outstretched hand(K) and a mighty arm(L) in furious anger and in great wrath. I will strike(M) down those who live in this city—both man and beast—and they will die of a terrible plague.(N) After that, declares the Lord, I will give Zedekiah(O) king of Judah, his officials and the people in this city who survive the plague,(P) sword and famine, into the hands of Nebuchadnezzar king of Babylon(Q) and to their enemies(R) who want to kill them.(S) He will put them to the sword;(T) he will show them no mercy or pity or compassion.’(U)

“Furthermore, tell the people, ‘This is what the Lord says: See, I am setting before you the way of life(V) and the way of death. Whoever stays in this city will die by the sword, famine or plague.(W) But whoever goes out and surrenders(X) to the Babylonians who are besieging you will live; they will escape with their lives.(Y) 10 I have determined to do this city harm(Z) and not good, declares the Lord. It will be given into the hands(AA) of the king of Babylon, and he will destroy it with fire.’(AB)

11 “Moreover, say to the royal house(AC) of Judah, ‘Hear the word of the Lord. 12 This is what the Lord says to you, house of David:

“‘Administer justice(AD) every morning;
    rescue from the hand of the oppressor(AE)
    the one who has been robbed,
or my wrath will break out and burn like fire(AF)
    because of the evil(AG) you have done—
    burn with no one to quench(AH) it.
13 I am against(AI) you, Jerusalem,
    you who live above this valley(AJ)
    on the rocky plateau, declares the Lord
you who say, “Who can come against us?
    Who can enter our refuge?”(AK)
14 I will punish you as your deeds(AL) deserve,
    declares the Lord.
I will kindle a fire(AM) in your forests(AN)
    that will consume everything around you.’”

Notas al pie

  1. Jeremiah 21:2 Hebrew Nebuchadrezzar, of which Nebuchadnezzar is a variant; here and often in Jeremiah and Ezekiel
  2. Jeremiah 21:4 Or Chaldeans; also in verse 9