Yakobo 5:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Naye okusingira ddala byonna, abooluganda, temulayiranga ggulu, oba ensi, oba ekintu kyonna ekirala. Ensonga bw’ebeeranga weewaawo, gamba weewaawo. Bw’ebeeranga si weewaawo gamba si weewaawo, mulyoke mwewale okusalirwa omusango okubasinga.
Read full chapter
Isaaya 66:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
66 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,
“Eggulu y’entebe yange kwe nfugira
n’ensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,
nnyumba ki gye mulinzimbira?
Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
Matayo 23:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Era bwe mulayira eggulu, muba mulayira n’entebe ya Katonda ey’obwakabaka n’oyo yennyini agituulako.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.