Add parallel Print Page Options

(A)Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu. (B)Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa (C)naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng’amanyi okwefuga.

Read full chapter

13 (A)Mufengayo ku byetaago by’abantu ba Katonda, era mwanirizenga abagenyi.

Read full chapter

24 (A)Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza,

Read full chapter